$10.00

Tosanye kusubwa kitabo kino. Kyefunire kati osobole okumanya amakulu g’ebirooto byewaloota edda, byoloota kati ne byoliloota gye bugya.

Category:

Teriyo kirooto kibi. Buli kirooto kyofuna nga webase ekiro oba emisana kibeera kirungi. Obubaka obujjira mu kirooto bwe buyinza okubeera obubi naye so si kirooto kye kiba ekibi. Okuloota kwa mugaaso nnyo eri obulamu bw’omuntu. Bwoba nga oloota nyo buli kaseera, kakibere kirooto kitya oba kitya—webaze Omukama; ekyo kitegeeza nti oli mulamu era muzuukufu mu mwoyo—tewali kiyinza kukukwekebwa ku nsi. Buli kimu kikubikulirwa mu birooto.

Ebirooto bi tuteekateeka, awamu n’okutulabula ko n’okutulengeza kw’ebyo ebiba bigenda okubeerawo mu bulamu bwaffe mu maaso. Katonda ayagala obeere bulungi ku nsi kyava akuwa ebirooto osobole okwemanya bwoyimiride munsi ey’omyoyo. Nolwekyo bwoloota tolonzalonza—ekirooto bwekiba kitiisa kisazemu ate bwekiba kyassanyu kizimbe era okitwale.

Mu kitabo kino, omuseminariyo Stephen Kakande akuwa ebirooto 250 n’amakulu g’abyo, awamu n’essaala zolina okusomera ku buli kirooto ko n’ebikolwa byolina okukola okusobola okuganyulwa mu birooto byo. Tosanye kusubwa kitabo kino. Kyefunire kati osobole okumanya amakulu g’ebirooto byewaloota edda, byoloota kati ne byoliloota gye bugya.

Prices quoted exclude: Shipping /postage costs

There are no reviews yet.

Be the first to review “EBIROOTO 250 Amakulu Gaabyo N’essaala Ezigendera ku buli Kirooto”